Matthew 24:43 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mumanye na kino nti singa nnannyinimu yali ategedde akaseera omubbi k'anajjiramu, yanditunudde, n'ataganya nnyumba ye kumenyebwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mutegeere kino: ssinga ssemaka amanya essaawa omubbi w’anaayingirira okumenya ennyumba ye, yandisigadde ng’atunula, n’ataganya mubbi kumuyingirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kino mukitegeere nti Alina enju ye singa amanya ekisisimuka bwe kiri omubbi ky'anajjiramu, yanditunudde, teyandirese nnyumba ye kusimibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mumanye kino nti singa nnannyini nnyumba amanya ekiseera omubbi ky'anajjiramu, yanditunudde, n'ataleka nnyumba ye kumenyebwa na kuyingirwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye kino mukitegeere nti Alina enju ye singa yamanya ekisisimuka bwe kiri omubbi ky'anajjiramu, yanditunudde, teyandirese nnyumba ye kusimibwa.