Matthew 24:44 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nammwe nno mwetegekenga, kubanga Omwana w'Omuntu alijja mu kaseera ke mutalowooza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo nammwe bwe mutyo mweteeketeeke, kubanga Omwana w’omuntu alijjira mu kiseera kye mutamulowoolezaamu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukale nammwe mweteeketeeke; kubanga Omwana w'omuntu alijjira mu kiseera kye mutamusuubiriramu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nno nammwe mubenga beetegefu, kubanga Omwana w'Omuntu alijjira mu kiseera kye mutamusuubiriramu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukale nammwe mweteeketeeke: kubanga mu kiseera kye mutalowoolezaamu Omwana w'omuntu ky'ajjiramu.