Matthew 24:46 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuweereza oyo yeesiimye mukama we bw'alijja amala amusanga ng'akola bw'atyo!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alina omukisa omuddu oyo, mukama we gw’alisanga ng’akola bw’atyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuddu oyo alina omukisa, mukama we bw'alijja gw'alisanga ng'akola bw'atyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wa mukisa omuddu oyo, mukama we bw'alijja, gw'alisanga ng'akola bw'atyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuddu oyo alina omukisa, mukama we gw'alisanga ng'azze ngakola bw'atyo.