Matthew 24:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga bangi balijja mu linnya lyange nga bagamba nti: ‘Nze Kristu,’ era baliwubisa bangi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga bangi balijja mu linnya lyange nga bagamba nti, ‘Nze Kristo’, era balirimba bangi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bangi abalijja mu linnya lyange, nga bagamba nti, ‘Nze Kristo;’ balikyamya bangi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga bangi balijja nga beeyita nze, Kristo, era balibuzaabuza bangi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bangi abalijja mu linnya lyange, nga bagamba nti Nze Kristo; balikyamya bangi.