Matthew 24:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga eggwanga lirisitukira mu linnaalyo, n'obwakabaka mu bunnaabwo; walibaawo enjala ne musisi mu bifo ebimu;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amawanga galirwana ne gannaago, n’obwakabaka bulirwana n’obwakabaka, era walibaawo enjala mu bifo bingi ne musisi aliyuuguumya ebifo bingi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga eggwanga liritabaala eggwanga ne kabaka alitabaala kabaka, walibaawo enjala n'ebikankano mu bifo ebitali bimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eggwanga erimu lirirumba eggwanga eddala, n'obwakabaka bulirumba obwakabaka obulala. Walibaawo enjala n'okukankana kw'ensi mu bitundu bingi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga eggwanga liritabaala eggwanga ne kabaka alitabaala kabaka: walibaawo enjala n'ebikankano mu bifo ebitali bimu.