Matthew 24:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Balibawaayo okubabonyaabonya ne babatta. Amawanga gonna galibakyawa olw'okubeera erinnya lyange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Muliweebwayo ne mubonyaabonyezebwa era ne muttibwa, era mulikyayibwa amawanga gonna olw’erinnya lyange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mmwe balibakwata ne babawaayo mubonyebonyezebwe, balibatta; nammwe mulikyayibwa amawanga gonna okubalanga erinnya lyange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mmwe balibakwata, ne babawaayo mubonyaabonyezebwe, era mulittibwa. Abantu bonna balibakyawa mmwe olw'okuba muli bagoberezi bange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Lwe balibawaayo mmwe mubonyebonyezebwe, balibatta: nammwe mulikyayibwa amawanga gonna okubalanga erinnya lyange.