Matthew 25:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Olwo obwakabaka obw'omu ggulu bulifaanaanyirizibwa abawala ekkumi abaakwata ettawaaza zaabwe ne bagenda okwaniriza awasizza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Obwakabaka obw’omu ggulu bufaananyizibwa n’abawala embeerera ekkumi, abaatwala ettaala zaabwe ne bagenda okusisinkana anaawasa omugole.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mu biro ebyo obwakabaka obw'omu ggulu bulifaananyizibwa n'abawala ekkumi (10), abaakwata ettabaaza zaabwe, ne bagenda okwaniriza awasa omugole.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mu nnaku ezo, Obwakabaka obw'omu ggulu bulifaanaanyirizibwa n'abawala ekkumi, abaakwata ettaala zaabwe, ne bagenda okwaniriza awasa omugole.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu biro ebyo obwakabaka obw'omu ggulu bulifaananyizibwa abawala ekkumi, abaatwala ettabaaza zaabwe, ne bagenda okusisinkana anaawasa omugole.