Matthew 25:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baali bagenze okwegulira, awasa n'atuuka; abaali beetegese ne bayingira wamu naye ku mbaga, omulyango ne guggalibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye baali baakagenda anaawasa omugole n’atuuka, abo abaali beeteeseteese ne bayingira ku mbaga, oluggi ne luggalwawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abawala abasirusiru bwe baali bagenda okugula amafuta, awasa omugole n'atuuka; abo abaali beeteeseteese ne bayingira naye mu mbaga ey'obugole; oluggi ne luggalwawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Abawala abasiru nga bagenze okugula amafuta, awasa omugole n'atuuka. Abaali beetegese ne bayingira wamu naye mu mbaga ey'obugole, oluggi ne luggalwawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe baali bagenda okugula, anaawasa omugole n'ajja: n'abo abaali beeteeseteese ne bayingira naye mu mbaga ey'obugole: oluggi ne luggalwawo.