Matthew 25:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyaweebwa talenta ettaano n'agenda mangu, n'azisuubuza, n'aviisaamu talenta endala ttaano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusajja eyafuna ttalanta ettaano n’azisuubuzisa n’afunamu ttalanta ttaano endala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amangwago oli eyaweebwa ettalanta ettaano n'agenda n'azisuubuzisa n'aviisaamu ettalanta ttaano endala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amangwago, oyo eyafuna talanta ettaano, n'agenda n'azisuubuza, n'afunamu amagoba ga talanta endala ttaano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amangu ago oli eyaweebwa ettalanta ettaano n'agenda n'azisuubuzisa n'aviisaamu ettalanta ttaano endala.