Matthew 25:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye eyaweebwa talenta emu, n'agenda n'asima mu ttaka, n'akukulira omwo ensimbi za mukama we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye eyaweebwa ttalanta emu, bwe yagifuna n’agenda n’aziika ttalanta ya mukama we mu ttaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye oli eyaweebwa emu n'agenda n'asima ekinnya mu ttaka, n'akwekamu effeeza ya mukama we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka oyo eyafuna talanta emu, n'agenda, n'asima ekinnya mu ttaka, n'akwekamu ensimbi za mukama we.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye oli eyaweebwa emu n'agenda n'asima mu ttaka, n'akweka effeeza ya mukama we.