Matthew 25:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyafuna talenta ettaano n'asembera, n'aleeta talenta endala ttaano, n'agamba nti: ‘Ssebo, wankwasa talenta ttaano; laba, naviisaamu endala ttaano.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusajja gwe yalekera ttalanta ettaano n’ajja n’amuleetera ttalanta endala ttaano ng’agamba nti, ‘Mukama wange wampa ttalanta ttaano, nviisizaamu ttalanta endala ttaano.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuddu eyaweebwa ettalanta ettaano n'ajja n'aleeta ettalanta ettaano endala, n'agamba nti, ‘Mukama wange, wandekera ettalanta ttaano; laba, n'aviisaamu ettalanta ttaano endala.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuddu eyafuna talanta ettaano, n'ajja, n'aleeta talanta endala ttano, n'agamba nti: ‘Mukama wange, wandekera talanta ettaano. Laba, nafunamu amagoba ga talanta endala ttaano.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'oli eyaweebwa ettalanta ettaano n'ajja n'aleeta ettalanta ettaano endala, n'agamba nti Mukama wange, wandekera ettalanta ttaano: laba, naviisaamu ettalanta ttaano endala.