Matthew 25:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mukama we n'amugamba nti: ‘Weebale, omuweereza omulungi omwesigwa, kubanga wali mwesigwa mu bitono, nzija kukukwasa ebingi. Kale yingira mu ssanyu lya mukama wo.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mukama we n’amugamba nti, ‘Weebale, oli muddu mulungi era mwesigwa, obadde mwesigwa mu bintu ebitono, ndikusigira ebintu ebingi. Yingira sanyukira wamu ne mukama wo.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama we n'amugamba nti, ‘Weebale, oli muddu mulungi mwesigwa; wali mwesigwa mu bitono, ndikusigira ebingi, yingira mu ssanyu lya mukama wo.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama we n'amugamba nti: ‘Weebale, omuddu omulungi era omwesigwa. Wali mwesigwa mu bintu ebitono, nja kukuwa okulabirira ebingi. Yingira mu ssanyu lya mukama wo.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama we n'amugamba nti Weebale, oli muddu mulungi mwesigwa: wali mwesigwa mu bitono, ndikusigira ebingi: yingira mu ssanyu lya mukama wo.