Matthew 25:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyaweebwa talenta ebbiri n'asembera n'agamba nti: ‘Ssebo, wankwasa talenta bbiri; laba naviisaamu endala bbiri.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Eyalekerwa ttalanta ebiri naye n’ajja, n’ategeeza mukama we nti, ‘Ssebo, wandekera ttalanta bbiri, era ne nziviisaamu ttalanta endala bbiri.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'oli eyaweebwa ettalanta ebbiri n'ajja n'agamba nti, ‘Mukama wange, wandekera ettalanta bbiri; laba, n'aviisaamu ettalanta bbiri endala.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'oyo eyafuna talanta ebbiri n'ajja, n'agamba nti: ‘Mukama wange, wandekera talanta bbiri. Laba, nafunamu amagoba ga talanta endala bbiri.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'oli eyaweebwa ettalanta ebbiri n'ajja n'agamba nti Mukama wange, wandekera ettalanta bbiri: laba, naviisaamu ettalanta bbiri endala.