Matthew 25:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mukama we n'addamu n'amugamba nti: ‘Muweereza ggwe omubi, engajaba! Wamanya nga nkungula gye saasiga, nkuŋŋaanya gye saawewera,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye mukama we n’amugamba nti, ‘Ggwe omuddu omubi era omugayaavu! Obanga wamanya nti ndi muntu akungulira gye ssaasigira,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mukama we n'addamu n'amugamba nti, ‘Oli muddu mubi mugayaavu! wamanya nti nkungulira gye ssaasigira, nkuŋŋaanyiza gye ssaayiyira;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama we n'amugamba nti: ‘Muddu ggwe omubi era omugayaavu! Wamanya nti nkungulira gye saasimbira, nkuŋŋaanyiza gye saasigira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mukama we n'addamu n'amugamba nti Oli muddu mubi mugayaavu, wamanya nti nkungulira gye ssaasigira, nkuŋŋaanyiza gye ssaayiyira;