Matthew 25:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga buli alina aliweebwa n'afuna na biyitirivu; naye atalina ne ky'alina kirimuggyibwako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga alina aliweebwa abe na bingi naye atalina, n’ebyo by’alina ebitono birimuggyibwako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga buli muntu alina aliweebwa, era aliba na bingi; naye atalina, aliggibwako na kiri kyali nakyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga buli alina aliweebwa n'aba na bingi nnyo. Ate atalina, aliggyibwako n'akatono k'ali nako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga buli muntu alina aliweebwa, era aliba na bingi: naye atalina, aliggibwako na kiri ky'ali nakyo.