Matthew 25:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omwana w'Omuntu bw'alijja mu kitiibwa kye, wamu ne bamalayika be bonna, olwo alituula ku nnamulondo ye ey'ekitiibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omwana w’Omuntu bw’alijja mu kitiibwa kye ne bamalayika bonna nga bali naye, alituula ku ntebe ey’ekitiibwa kye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Naye Omwana w'omuntu bw'alijjira mu kitiibwa kye, ne bamalayika bonna nga bali naye, awo alituula ku ntebe ey'ekitiibwa kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omwana w'Omuntu bw'alijjira mu kitiibwa kye, eky'obwakabaka, bamalayika bonna nga bali wamu naye, olwo alituula ku ntebe ye eyeekitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Omwana w'omuntu bw'alijjira mu kitiibwa kye, ne bamalayika bonna nga bali naye, awo bw'alituula ku ntebe ey'ekitiibwa kye: