Matthew 25:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amawanga gonna ne gakuŋŋaanira mu maaso ge, n'abaawulamu kinnoomu ng'omusumba bw'ayawula endiga mu mbuzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa mu maaso ge era aligaawulamu ng’omusumba bw’ayawulamu endiga n’embuzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa mu maaso ge; naye alibaawulamu ng'omusumba bw'ayawula endiga n'embuzi,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bonna balikuŋŋaanyizibwa mu maaso ge, n'abaawulamu, ng'omusumba bw'ayawula endiga n'embuzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa mu maaso ge; naye alibayawulamu ng'omusumba bw'ayawulamu endiga n'embuzi: