Matthew 25:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo kabaka aligamba abo abalimubeera ku mukono ogwa ddyo, nti: ‘Mujje mmwe Kitange be yawa omukisa, musikire obwakabaka obwabategekerwa okuva ensi lwe yabangibwawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Awo Kabaka n’alyoka agamba abali ku mukono gwe ogwa ddyo nti, ‘Mujje mmwe Kitange be yawa omukisa, musikire obwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ku kutondebwa kw’ensi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Kabaka aligamba abali ku mukono gwe ogwa ddyo nti, ‘Mujje, mmwe Kitange be yawa omukisa, musikire obwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ku kutonda ensi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Awo Kabaka aligamba abo abali ku ludda lwe olwa ddyo nti: ‘Mmwe Kitange be yawa omukisa, mujje mubeere mu Bwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ensi lwe yatondebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Kabaka aligamba abali ku mukono gwe ogwa ddyo nti Mujje, mmwe Kitange be yawa omukisa, musikire obwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ku kutonda ensi: