Matthew 25:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga bwe nali nnumwa enjala, mwampa ku kyokulya; bwe nali nnumwa ennyonta, mwampa ku kyokunywa; bwe nali omugenyi mwannyaniriza;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga nnali muyala ne mundiisa, nnali muyonta ne mumpa ekyokunywa, nnali mugenyi ne munnyaniriza,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga nnalina enjala ne mumpa eky'okulya, nnalina ennyonta ne munnywesa, nnali mugenyi ne munsuza;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga nali nnumwa enjala, ne mumpa ekyokulya. Nali nnumwa ennyonta, ne mumpa ekyokunywa. Nali mugenyi, ne munsuza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga nnalina enjala ne mumpa ekyokulya: nnalina ennyonta ne munnywesa: nnali mugenyi ne munsuza;