Matthew 25:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo abatuukirivu balimuddamu nti: ‘Mukama, twakulaba ddi ng'olumwa enjala, ne tukuliisa; ng'olumwa ennyonta, ne tukuwa ekyokunywa?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Abatuukirivu ne bamubuuza nti, ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ng’oli muyala ne tukuliisa? Oba ng’olina ennyonta ne tukuwa ekyokunywa?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abatuukirivu balimuddamu nga bagamba nti, ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ng'olina enjala ne tukuliisa? Oba ng'olina ennyonta ne tukunywesa?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Awo abaakola ebituufu balimuddamu nti: ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ng'olumwa enjala, ne tukuwa ekyokulya, ng'olumwa ennyonta, ne tukuwa ekyokunywa?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abatuukirivu balimuddamu nga bagamba nti Mukama waffe, twakulaba ddi ng'olina enjala ne tukuliisa? oba ng'olina ennyonta ne tukunywesa?