Matthew 25:40 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka alibaddamu nti: ‘Mazima mbagamba nti nga bwe mwakikolera omu ku baganda bange bano abasingayo obuto, mwakikolera nze.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kabaka, alibaddamu nti, ‘Ddala ddala mbagamba nti bwe mwabikolera baganda bange bano abasembayo wansi kye kimu mwabikolera nze!’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne Kabaka aliddamu alibagamba nti, ‘Mazima mbagamba nti Nga bwe mwakola omu ku abo baganda bange abasinga obuto, mwakikola nze.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kabaka alibaddamu nti: ‘Mazima mbagamba nti: buli lwe mwakikolera omu ku baganda bange bano abato, mwakikolera nze.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Kabaka aliddamu alibagamba nti Mazima mbagamba nti Nga bwe mwakola omu ku abo baganda bange abasinga obuto, mwakikola nze.