Matthew 25:43 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nali mugenyi ne mutannyaniriza, nali bukunya ne mutannyambaza; nali mulwadde ne mu kkomera, ne mutannambula.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nnali mugenyi ne mutannyaniriza, nnali bwereere ne mutannyambaza, nnali mulwadde ne mu kkomera ne mutajja kunnambula.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nnali mugenyi, temwansuza, nnali bwereere, temwannyambaza, mulwadde, ne mu kkomera, temwannambula.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nali mugenyi, ne mutansuza. Nali sirina kya kwambala, ne mutannyambaza. Nali mulwadde, era nali mu kkomera, ne mutannambula.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nnali mugenyi, temwansuza: nnali bweeere, temwannyambaza: mulwadde, ne mu nvuba, temwannambula.