Matthew 25:44 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nabo balimuddamu nti: ‘Mukama, twakulaba ddi ng'olumwa enjala, oba ng'olumwa ennyonta, oba ng'oli mugenyi, oba ng'oli bwereere, oba ng'oli mulwadde, oba ng'oli mu kkomera ne tutakuweereza?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Nabo baliddamu nti, ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ng’oli muyala oba ng’oli muyonta, oba ng’oli mugenyi oba ng’oli bwereere oba mulwadde oba ng’oli mu kkomera, ne tutakuyamba?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo nabo baliddamu, nga bagamba nti, ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ng'olina enjala, oba ng'olina ennyonta, oba mugenyi, oba bwereere, oba mulwadde, oba mu kkomera, ne tutakuyamba?’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Awo nabo balimuddamu nti: ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ng'olumwa enjala, oba ng'olumwa ennyonta, oba ng'oli mugenyi, oba nga tolina ky'oyambala, oba ng'oli mulwadde, oba ng'oli mu kkomera, ne tutakuyamba?’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo nabo baliddamu, nga bagamba nti Mukama waffe, twakulaba ddi ng'olina enjala, oba ng'olina ennyonta, oba mugenyi, oba bweeere, oba mulwadde, oba mu nvuba, ne tutakuweereza?