Matthew 25:45 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Alibaddamu ng'abagamba nti: ‘Mazima mbagamba nti nga bwe mwagaana okukikolera omu ku basingayo obuto bano, mwagaana kukikolera nze.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye alibaddamu nti, ‘ddala ddala mbagamba nti, nga bwe mutaakikola omu ku bano abasembayo wansi, nange temwakinkola.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo alibaddamu, ng'agamba nti, ‘Mazima mbagamba nti Nga bwe mutaakikolera omu ku abo abasinga obuto, temwakikolera nze.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Kabaka alibaddamu nti: ‘Mazima mbagamba nti: buli lwe mwagaana okuyamba omu ku bano abasinga obuto, mwagaana kuyamba nze.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo alibaddamu, ng'agamba nti Mazima nbagamba nti Nga bwe mutaakola omu ku abo abasinga obuto, temwakikola nze.