Matthew 25:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyo mu ttumbi, ne wabaawo obuluulu nti: ‘Awasa wuuyo! Mufulume mumusisinkane.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Obudde bwe bwatuuka mu ttumbi oluyoogaano ne lubazuukusa, abantu nga baleekaana nti, ‘Awasa omugole atuuse! Mujje mumwanirize!’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ekiro mu ttumbi ne waba oluyoogaano nti, ‘Laba, awasa omugole ajja! Mufulume okumusisinkana.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ekiro mu ttumbi, ne wabaawo oluyoogaano nti: ‘Awasa omugole wuuno ajja, mujje mumwanirize.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ekiro mu ttumbi ne waba oluyoogaano nti Laba, anaawasa omugole ajja! Mufulume okumusisinkana.