Matthew 25:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ababuyabuya ne bagamba abalabufu nti: ‘Mutuwe ku muzigo gwammwe, kubanga ettawaaza zaffe zizikira.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abawala abataano abataalina magezi ne bagamba nti, ‘Mutuwe ku mafuta gammwe, kubanga ettaala zaffe zaagala kuzikira ziggweerera.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasirusiru ne bagamba abalina amagezi nti, ‘Mutuwe ku mafuta gammwe; kubanga ettabaaza zaffe ziggweerera.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo abasiru ne bagamba bannaabwe abagezi nti: ‘Mutuwe ku mafuta gammwe, kubanga ettaala zaffe ziggweerera’.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abasirusiru ne bagamba abalina amagezi nti Mutuwe ku mafuta gammwe; kubanga ettabaaza zaffe ziggweerera.