Matthew 26:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mazima mbagamba nti: wonna Evangili eno gy'eribuulirwa mu nsi yonna, ky'akoze kiryogerwangako okumujjukira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ddala ddala mbagamba nti, bulijjo ajjanga kujjukirwa olw’ekikolwa kino. Ekikolwa ky’omukazi ono kijjanga kwogerwako wonna wonna mu nsi Enjiri gy’eneebuulirwanga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mazima mbagamba nti Enjiri eno buli gy'eneebuulirwanga mu nsi zonna, n'ekyo omukazi ono ky'akoze kinaayogerwangako okumujjukira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mazima mbagamba nti: wonna mu nsi Amawulire Amalungi gye galitegeezebwa abantu, na kino omukazi ono ky'akoze, kiryogerwako okumujjukira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mazima mbagamba nti Enjiri eno buli gy'eneebuulirwanga mu nsi zonna, n'ekyo omukazi ono ky'akoze kinaayogerwangako okumujjukira.