Matthew 26:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'agamba nti: “Mugende mu kibuga ewa gundi, mumugambe nti: ‘Omuyigiriza agambye nti: Obudde bwange buli kumpi; ewuwo gye nnaakolera Pasika wamu n'abayigirizwa bange.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’abaddamu nti, “Mugende mu kibuga ewa ‘Gundi,’ mumugambe nti, ‘Omuyigiriza agambye nti: Ekiseera kyange kituuse, era Embaga ey’Okuyitako njagala kugiriira mu maka go awamu n’abayigirizwa bange.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'abagamba nti, “Mugende mu kibuga ewa gundi, mumugambe nti, ‘Omuyigiriza agambye nti Ekiseera kyange kinaatera okutuuka; ewuwo gye nnaaliira Okuyitako n'abayigirizwa bange.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'abagamba nti: “Mugende mu kibuga ewa gundi, mumugambe nti: ‘Omuyigiriza agambye nti: Ekiseera kyange kinaatera okutuuka. Ewuwo gye nnaaliira awamu n'abayigirizwa bange, Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba nti Mugende mu kibuga ewa gundi, mumugambe nti Omuyigiriza agambye nti Ekiseera kyange kinaatera okutuuka; ewuwo gye nnaaliira Okuyitako n'abayigirizwa bange.