Matthew 26:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mumanyi nga Pasika ejja mu nnaku bbiri, n'Omwana w'Omuntu agenda kuweebwayo okukomererwa ku musaalaba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Nga bwe mumanyi, ebulayo ennaku bbiri tutuuke ku mbaga ey’Okuyitako. Omwana w’Omuntu aliweebwayo akomererwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mumanyi nti oluvannyuma lw'ennaku bbiri walibaawo Okuyitako, n'Omwana w'omuntu aliweebwayo okukomererwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mumanyi nti wabulayo ennaku bbiri, Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako etuuke. Era Omwana w'Omuntu ajja kuweebwayo, akomererwe ku musaalaba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mumanyi nti olw'ebbiri walibaawo Okuyitako, n'Omwana w'omuntu aliweebwayo okukomererwa.