Matthew 26:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo ne banakuwala nnyo; ne basooka okumubuuza kinnoomu nti: “Mukama, ye nze?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baakiwulira emitima ne gibeewanika, buli omu n’abuuza nti, “Ye nze?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abayigirizwa ne banakuwala nnyo, ne batanula kinnoomu okumubuuza nti, “Mukama wange, ye nze?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayigirizwa ne banakuwala nnyo, era kinnoomu, ne babuuza Yesu nti: “Mukama wange, omuntu oyo ye nze?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne banakuwala nnyo, ne batanula kinnoomu okumugamba nti Mukama wange, ye nze?