Matthew 26:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Weewaawo Omwana w'Omuntu agenda nga bwe kyamuwandiikibwako, kyokka zimusanze oyo anaawaayo Omwana w'Omuntu! Singa omuntu oyo teyazaalibwa, kyandibadde kirungi gy'ali.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mutegeere nti Omwana w’Omuntu agenda nga bwe kyamuwandiikibwako, naye zimusanze omuntu oyo agenda okulya mu Mwana w’Omuntu olukwe. Kyandibadde kirungi singa omuntu oyo teyazaalirwa ddala.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omwana w'omuntu agenda, nga bwe kyamuwandiikibwako; naye zisanze omuntu oyo anaalyamu olukwe Omwana w'omuntu! kyandibadde kirungi singa omuntu oyo teyazaalibwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ddala Omwana w'Omuntu agenda kuttibwa, ng'ebyawandiikibwa bwe bimwogerako. Naye omuntu oyo anaalyamu Omwana w'Omuntu olukwe, nga zimusanze! Omuntu oyo kyandimubeeredde kirungi obutazaalibwa!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwana w'omuntu agenda, nga bwe yawandiikirwa: naye zisanze omuntu oyo anaalyamu olukwe Omwana w'omuntu! kyandibadde kirungi eri oyo singa teyazaalibwa omuntu oyo.