Matthew 26:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ka mbabuulire, okuva kati siriddamu kunywa ku kibala kino eky'omuzabbibu, okutuusa olunaku olwo lwe ndikinywa obuggya wamu nammwe mu bwakabaka bwa Kitange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era mbagamba nti, Sigenda kuddayo kunywa ku kibala kino okutuusa ku lunaku olwo lwe ndikinywa nammwe nga kiggya mu bwakabaka bwa Kitange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mbagamba nti Sirinywa n'akatono okusooka leero ku guno ogubala ku muzabbibu, okutuusa ku lunaku luli lwe ndigunywa omuggya awamu nammwe mu bwakabaka bwa Kitange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mbagamba nti okuva kati sirinywa mwenge gwa mizabbibu, okutuusa lwe ndigunywa wamu nammwe nga muggya, mu Bwakabaka bwa Kitange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mbagamba nti Sirinywa n'akatono okusooka leero ku guno ogubala ku muzabbibu, okutuusa ku lunaku luli lwe ndigunywa omuggya awamu nammwe mu bwakabaka bwa Kitange.