Matthew 26:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo bakabona abakulu n'abakadde b'abantu ne bakuŋŋaana mu nnyumba ya kabona omukulu eyali ayitibwa Kayafa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo kyennyini, bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya baali bakuŋŋaanye mu lubiri lwa Kayaafa, Kabona Asinga Obukulu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bakabona abakulu n'abakadde b'abantu ne bakuŋŋaanira mu kigango kya kabona asinga obukulu, eyayitibwanga Kayaafa;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bakabona abakulu, n'abantu abakulu mu ggwanga, ne bakuŋŋaanira mu luggya lwa Ssaabakabona, ayitibwa Kayaafa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bakabona abakulu n'abakadde b'abantu ne bakuŋŋaanira mu kigango kya kabona asinga obukulu, eyayitibwa Kayaafa;