Matthew 26:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'abagamba nti: “Mmwe mwenna mujja kunneesittalako ekiro kino, kubanga baawandiika nti: ‘Ndikuba omusumba, endiga ze ggana ne zibuna emiwabo.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’abagamba nti, “Ekiro kya leero mwenna mujja kunjabulira. “Kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Ndikuba omusumba n’endiga z’omu kisibo kye ne zisaasaana.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu n'abagamba nti, “Mmwe mwenna muneesittala ku lwange ekiro kino; kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Ndikuba omusumba, n'endiga ez'omu kisibo zirisaasaanyizibwa.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Mwenna munadduka ne munjabulira ekiro kino, kubanga kyawandiikibwa nti: ‘Nditta omusumba, endiga ez'omu kisibo ne zisaasaana.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yesu n'abagamba nti Mmwe mwenna muneesittala ku lwange ekiro kino: kubanga kyawandiikibwa nti Ndikuba omusumba, n'endiga ez'omu kisibo zirisaasaanyizibwa.