Matthew 26:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Petero n'amugamba nti: “Ne bwe nnaaba ndi wa kufa wamu naawe, sijja kukwegaana.” Na bonna abayigirizwa ne boogera bwe batyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Peetero n’amugamba nti, “Oba kufiira wamu naawe n’afa, naye sijja kukwegaana n’akamu kokka.” N’abayigirizwa be abalala bonna ne boogera bwe batyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Peetero n'addamu n'amugamba nti, “Newakubadde nga kiŋŋwanira okufiira awamu naawe, siikwegaane n'akatono.” N'abayigirizwa abalala bonna ne boogera bwe batyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Peetero n'amuddamu nti: “Ne bwe mba nga nteekwa okuttibwa naawe, siikwegaane.” N'abalala ne boogera bwe batyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Peetero n'amugamba nti Newakubadde nga kiiŋŋwanira okufiira awamu naawe, siikwegaane n'akatono. N'abayigirizwa bonna ne boogera bwe batyo.