Matthew 26:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yezu n'agenda nabo mu kafo akayitibwa Getisemani, n'agamba abayigirizwa be nti: “Mutuule wano ngira ŋŋenda eri neegayirire.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’agenda nabo mu kifo ekiyitibwa Gesusemane n’abagamba nti, “Mutuule wano okutuusa lwe nnaamala okusaba nkomewo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu n'agenda n'abayigirizwa be mu kifo ekiyitibwa Gesusemane, Yesu n'agamba abayigirizwa be nti, “Mutuule wano, nze ŋŋende eri nsabe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'abayigirizwa be ne batuuka mu kifo ekiyitibwa Getesemaane. Yesu n'abagamba nti: “Mutuule wano, nze ŋŋende eri neegayirire Katonda.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yesu n'atuuka nabo mu kifo ekiyitibwa Gesusemane, n'agamba abayigirizwa be nti Mutuule wano, ŋŋende eri nsabe.