Matthew 26:37 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'atoolako Petero ne batabani ba Zebedaayo bombi, n'asooka okuwulira ennaku n'okukabirirwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’atwala Peetero ne batabani ba Zebbedaayo bombi, n’atandika, okuwulira ennaku nnyingi n’okweraliikirira ennyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'atwala Peetero n'abaana ba Zebbedaayo bombi, n'atandika okunakuwala n'okweraliikirira ennyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'atwalako Peetero ne batabani ba Zebedaayo bombi. N'atandika okutya n'okweraliikirira ennyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'atwala Peetero n'abaana ba Zebbedaayo bombi, n'atanula okunakuwala n'okweraliikirira ennyo.