Matthew 26:39 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abaawukanako katono, n'agwa wansi ku maaso ge, ne yeegayirira ng'agamba nti: “Kitange, obanga kiyinzika, ekikompe kino kimpiteko; naye si nga nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw'oyagala.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abaleka awo ne yeeyongerayo akabanga, n’agwa wansi ng’avuunise amaaso ge ku ttaka, n’asaba nti, “Kitange! Obanga kisoboka, leka ekikompe kino kinzigibweko. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw’oyagala.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'atambulako katono, n'avuunama, n'asaba, n'agamba nti, “Ayi Kitange, oba kiyinzika ekikompe kino kinveeko; naye si nga nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw'oyagala.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yeeyongerayo katono mu maaso, n'afukamira, ne yeegayirira Katonda nti: “Kitange, singa kiyinzika, nzigyaako ekikopo kino eky'okubonaabona! Naye ggwe ky'oyagala kye kiba kikolebwa, sso si nze kye njagala.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'atambulako katono, n'avuunama, n'asaba, n'agamba nti Ai Kitange, ekikompe kino kinveeko, oba kiyinzika: naye si nga nze bwe njagala wabula nga ggwe bw’oyagala.