Matthew 26:42 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era omulundi ogwokubiri ne yeegayirira n'agamba nti: “Kitange, oba ekikompe kino tekiyinza kuyitawo, wabula nga nkinywedde, kikolebwe nga bw'oyagala.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abavaako omulundi ogwokubiri akabanga n’agenda n’asaba ng’agamba nti, “Kitange! Oba tekisoboka ekikompe kino kuvaawo wabula Nze okukinywa, kale ky’oyagala kye kiba kikolebwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'agenda omulundi ogwokubiri, n'asaba, ng'agamba nti, “Ayi Kitange, oba nga kino tekiyinza kunvaako, wabula nze okukinywa, ky'oyagala kikolebwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'agenda omulundi ogwokubiri, ne yeegayirira Katonda ng'agamba nti: “Kitange, oba nga ekikopo kino eky'okubonaabona tekiyinza kunzigyibwako, wabula nga nkinywedde, kale ky'oyagala kikolebwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nate n'agenda omulundi ogw'okubiri, n'asaba, ng'agamba nti Ai Kitange, oba nga kino tekiyinza kunvaako, wabula nze okukinywa, ky'oyagala kikolebwe.