Matthew 26:44 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abaleka, era n'agenda, ne yeegayirira ogwokusatu ng'ayogera ebigambo bye bimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abaleka n’agenda asaba ebigambo bye bimu nga biri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'abaleka nate, n'agenda, n'asaba omulundi ogwokusatu, n'ayogera nate ebigambo bimu na biri ebyasooka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'abaleka nate, n'agenda, ne yeegayirira Katonda omulundi ogwokusatu, mu ngeri y'emu nga bwe yeegayirira mu kusooka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abaleka nate, n'agenda, n'asaba omulundi ogw'okusatu, n'ayogera nate ebigambo bimu na biri.