Matthew 26:45 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'ajja eri abayigirizwa be, n'abagamba nti: “Mukyebase, mukyawummuddeko? Kaakano akadde katuuse, Omwana w'Omuntu agenda okuweebwayo mu mikono gy'aboonoonyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate n’akomawo awali abayigirizwa n’abagamba nti, “Kale mwebakire ddala, muwummule. Kyokka mumanye ng’ekiseera kituuse Omwana w’Omuntu aweebweyo mu mikono gy’abalina ebibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'ajja eri abayigirizwa, n'abagamba nti, “Era mukyebase n'okuwumulira ddala? Mulabe ekiseera kituuse, n'Omwana w'omuntu aweereddwayo mu mikono gy'abalina ebibi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'addayo eri abayigirizwa, n'abagamba nti: “Mukyebase, mukyawummudde? Essaawa etuuse Omwana w'Omuntu okuweebwayo mu buyinza bw'aboonoonyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'ajja eri abayigirizwa, n'abagamba nti Mwebakire ddala kaakano, muwummule: laba, ekiseera kinaatera okutuuka, n'Omwana w'omuntu aweereddwayo mu mikono gy'abalina ebibi.