Matthew 26:48 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyamuwaayo yali abawadde akabonero, ng'agambye nti: “Gwe nnaanywegera, nga ye wuuyo; mumukwate.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eyali agenda okumulyamu olukwe yali abategeezezza akabonero nti omuntu gw’anaalamusa nga y’oyo gwe baali beetaaga, nga bamukwata.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye oyo eyalya mu Yesu olukwe yabawa akabonero, ng'agamba nti, “Omuntu gwe nnaanywegera, nga ye wuuyo; mumukwate.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyo eyalyamu Yesu olukwe yali amaze okuwa ekibiina ky'abantu akabonero ng'agamba nti: “Omuntu gwe nnaalamusa nga mmunywegera, ye wuuyo, mumukwate.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye oyo amulyamu olukwe yabawa akabonero, ng'agamba nti Gwe nnaanywegera, nga ye wuuyo: mumukwate.