Matthew 26:49 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amangu ago n'asemberera Yezu, n'amugamba nti: “Mirembe, Rabbi.” N'amunywegera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amangwago n’ajja eri Yesu n’amulamusa nti, “Mirembe, Labbi,” n’amugwa mu kifuba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amangwago Yuda n'ajja awali Yesu, n'agamba nti, “Mirembe, Labbi!” N'amunywegera nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yuda bwe yajja, amangwago n'agenda awali Yesu, n'agamba nti: “Mirembe, Muyigiriza!” Era n'amunywegera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amangu ago n'ajja awali Yesu, n'agamba nti Mirembe, Labbi; n'amunywegera nnyo.