Matthew 26:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka ne bagamba nti: “Si ku mbaga enkulu, sikulwa ng'akeegugungo kagwawo mu kibiina.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye baasalawo kireme kubaawo mu kiseera eky’Embaga, si kulwa nga wabaawo akeegugungo mu bantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ne bagamba nti, “Tuleme okumukwatira ku lunaku olukulu, abantu baleme okwegugunga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ne bagamba nti: “Tuleme kumukwata mu biseera bya nnaku nkulu, sikulwa ng'abantu beegugunga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ne bagamba nti Tuleme okumukwatira ku lunaku olukulu, abantu baleme okukaayana.