Matthew 26:52 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'amugamba nti: “Ekitala kyo kizze mu kifo kyakyo, kubanga bonna abakwata ekitala, balizikirira na kitala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yesu n’amulagira nti, “Ekitala kyo kizzeeyo mu kiraato kyakyo. Kubanga abo abakozesa ebitala nabo bagenda kuttibwa na kitala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu n'amugamba nti, “Ekitala kyo kizze mu kifo kyakyo; kubanga abo bonna abakwata ekitala balifa kitala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'amugamba nti: “Ekitala kyo kizze mu kifo kyakyo, kubanga abo bonna abakwata ekitala, balifa kitala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yesu n'amugamba nti Ekitala kyo kizze mu kifo kyakyo: kubanga abo bonna abakwata ekitala balifa kitala.