Matthew 26:53 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nandiki olowooza nga siyinza kusaba Kitange amangu ago n'ampeereza ebitongole by'eggye lya bamalayika kkumi na bibiri n'okusoba?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tomanyi nti nnyinza okusaba Kitange bamalayika nkumi na nkumi okujja okutulwanirira?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olowooza nti ssiyinza kwegayirira Kitange, naye n'ampeereza kaakano bamalayika abasoba mu liigyoni ekkumi n'ebbiri (12)?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olowooza nti siyinza kusaba Kitange n'ampeereza ebibinja by'eggye lya bamalayika ebisoba mu kkumi n'ebibiri?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oba olowooza nti ssiyinza kwegayirira Kitange, naye n'ampeereza kaakano bamalayika okusinga liigyoni ekkumi n'ebbiri?