Matthew 26:55 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kaseera ako, Yezu n'agamba ekibiina nti: “Muvuddeyo n'ebitala n'emiggo okunkwata ng'abajjirira omunyazi? Buli lunaku natuulanga nga njigiriza mu Kiggwa naye temwankwata.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo Yesu n’abuuza ekibiina nti, “Ndi ng’omumenyi w’amateeka ow’akabi ennyo, n’okujja ne mujja okunkwata nga mubagalidde ebitala n’emiggo? Nabeeranga nammwe nga njigiriza mu Yeekaalu buli lunaku, ne mutankwata.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu kiseera ekyo Yesu n'agamba ebibiina nti, “Muzze okunkwata nga mulina ebitala n'emiggo ng'abajjiridde omunyazi? Nnatuulanga buli lunaku mu Yeekaalu nga njigiriza, ne mutankwata.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kaseera ako Yesu n'agamba ekibiina ky'abantu nti: “Muzze okunkwata nga mulina ebitala n'emiggo ng'abajjiridde omunyazi? Buli lunaku natuulanga mu Ssinzizo ne njigiriza, ne mutankwata.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu kiseera ekyo Yesu n'agamba ebibiina nti Muli ng'abajjiridde omunyazi n'ebitala n'emiggo okunkwata? Nnatuulanga buli lunaku mu yeekaalu nga njigiriza, ne mutankwata.