Matthew 26:57 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye abo bwe baakwata Yezu, ne bamutwala ewa Kayafa kabona omukulu, abawandiisi n'abakadde gye baali bakuŋŋaanidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ekibiina ne kitwala Yesu ewa Kayaafa, Kabona Asinga Obukulu, n’abakulembeze b’Abayudaaya gye baali bakuŋŋaanidde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bali abaakwata Yesu, ne bamutwala ewa Kayaafa kabona asinga obukulu, abawandiisi n'abakadde gye baali bakuŋŋaanidde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abo abaakwata Yesu ne bamutwala ewa Kayaafa, Ssaabakabona, abannyonnyozi b'amateeka n'abantu abalala abakulu mu ggwanga, gye baali bakuŋŋaanidde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bali abaakwata Yesu, ne bamutwala ewa Kayaafa kabona asinga obukulu, abawandiisi n'abakadde gye baakuŋŋaanira.