Matthew 26:58 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye Petero n'amugoberera ng'ayima walako okutuukira ddala ku luggya lwa kabona omukulu, n'ayingira n'atuula n'abakuumi, alabe enkomerero yaabyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo ne Peetero yali agoberera kyokka ng’ali walako emabega w’ekibiina; n’atuuka mu luggya lw’ennyumba ya Kabona Asinga Obukulu, n’atuula awaali abaweereza ng’alinda okutegeera ebinaavaayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Peetero yagoberera Yesu ng'amuvaako emabega wala, okutuuka mu kigango kya kabona asinga obukulu, n'ayingira munda, n'atuula n'abaweereza, alabe we binakkira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Peetero yagoberera Yesu okutuukira ddala mu luggya lwa Ssaabakabona, kyokka ng'amwesuddeko ebbanga. N'ayingira mu luggya, n'atuula n'abakuumi, alabe ebinaafaayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Peetero n'amuvaako ennyuma wala, okutuuka mu kigango kya kabona asinga obukulu, n'ayingira munda, n'atuula n'abaweereza, alabe we binakkira.