Matthew 26:62 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo kabona omukulu n'ayimirira, n'abuuza nti: “Tolina ky'oyanukula? Kiki kino abantu bano kye bakulumiriza?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Kabona Asinga Obukulu n’ayimirira n’abuuza Yesu nti, “Tolina ky’oddamu ku bino abasajja bano bye bakuloopa?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Kabona asinga obukulu n'ayimirira, n'amubuuza nti, “Toyanukula n'akatono? Kigambo ki bano kye bakulumiriza?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Ssaabakabona n'ayimirira, n'abuuza Yesu nti: “Tolina ky'oddamu mu ebyo bye bakulumiriza?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabona asinga obukulu n'ayimirira, n'amugamba nti Toyanukula n'akatono? kigambo ki bano kye bakulumiriza?